Deuteronomy 4:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwa leero mpita eggulu n'ensi ng'abajulirwa bange mu maaso gammwe, nti ensi gye mugenda okutwala nga musomose Yorudani, temuligibeeramu bbanga ggwanvu, mugenda kuzikiririra ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, mulizikirira ne muggweerawo ddala mangu mu nsi gye muyingira okutuulamu, nga musomose omugga Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkoowoola eggulu n'ensi okubalumiriza olwaleero nti mulizikirira mangu ne muggweerawo ddala mu nsi gye munaatera okuyingiramu okwefuga, nga musomose Omugga Yorudaani. Temuligibeeramu bbanga ggwanvu, naye mulizikirira ne muggweerawo ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa eri mmwe leero, nga mulizikiririra ddala mangu ku nsi gye musomokera Yoludaani okugendamu okugirya; temuligimalako nnaku nnyingi, naye mulizikiririra ddala.