Deuteronomy 4:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alibasaasaanya mu mawanga, era abaliwonawo eyo mu mawanga Omukama gy'alibatwala baliba batono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alibasaasaanyiza mu mawanga, mulisigalawo batono mu bantu, eyo ewala Mukama gy'alibatwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alibasaasaanya mu mawanga amalala, abatono ku mmwe gye balisigala nga balamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alibasaasaanya mu mawanga, era mulisigalawo batono mu bantu, Mukama gy'alibatwala ewala.