Deuteronomy 4:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo muliweererezaayo balubaale abantu be beekoledde mu miti ne mu mayinja, abatasobola kulaba, kuwulira, kulya wadde okuwunyiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo gye muliweerereza ba katonda abakolebwa n'emikono gy'abantu ab'emiti, n'amayinja, abatalaba, abatawulira, abatalya newakubadde okuwunyiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo gye muliweerereza balubaale abakolebwa abantu mu miti ne mu mayinja, balubaale abatalaba wadde okuwulira, era abatalya wadde okuwunyiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muliweerereza eyo bakatonda, emirimu gy'emikono gy'abantu, emiti n'amayinja, ebitalaba newakubadde okuwulira newakubadde okulya newakubadde okuwunyiriza.