Deuteronomy 4:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye nga muli eyo bw'olinoonya Omukama Katonda wo, ogenda kumuggukako; naye ng'omunoonyezza n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nga muli eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wammwe, n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna munaamulabanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nga muli eyo, munaanoonyanga Mukama Katonda wammwe. Era bwe munaamunoonyanga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, munaamuzuulanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nga muyima eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga bw'onoomunoonyanga n'omutima gwo gwonna n'obulamu bwo bwonna.