Deuteronomy 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwalaba n'amaaso gammwe byonna Omukama bye yakola e Baali-Pewori; nga bwe yazikiriza mu mmwe bonna abaagobereranga Baali ow'e Pewori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwerabirako n’amaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe bennyini mwalaba Mukama Katonda kye yakola e Pyoli, bwe yazikiriza abantu abo abaali mu mmwe abaasinza Baali ow'e Pyoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe mwennyini mwalaba Mukama Katonda wammwe bye yakolera e Pewori, ebikwata ku Baali. Yazikiriza bonna mu mmwe abaasinzizaayo Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso gammwe galabye Mukama kye yakola olwa Baalipyoli: kubanga abantu bonna abaagoberera Baalipyoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza wakati mu mmwe.