Deuteronomy 4:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku bw'erimala okukuyinga, bino byonna nga bimaze okukugwira, gye bujja, olidda eri Omukama Katonda wo n'owulira eddoboozi lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onoolabanga ennaku, era ebyo byonna nga bikujjidde, ku nkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, n'owulira eddoboozi lye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaabeeranga mu buyinike, era ng'ebyo byonna bibajjidde, ku nkomerero munaakomangawo eri Mukama Katonda wammwe, ne mugondera by'abagamba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onooba ng'olabye ennaku; era ebyo byonna nga bikujjidde; mu nnaku ez'enkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, era onoowuliranga eddoboozi lye;