Deuteronomy 4:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda wo, Katonda wa kisa; talikuvaamu, talikuzikiriza, era talyerabira ndagaano ne bajjajjaabo gye yabalayirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama Katonda wo wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa. Taabaabulirenga wadde okubazikiriza, era teyeerabirenga ndagaano gye yakola ne bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama Katonda wo Katonda wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira.