Deuteronomy 4:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oba waali wabaddewo eggwanga ne liwulira eddoboozi lya Katonda ayogera ng'ayima mu muliro wakati, nga ggwe bwe waliwulira, n'asigala nga mulamu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waali wabaddewo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuva wakati mu muliro nga ggwe bwe waliwulira, ne baba balamu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo abantu abaali bawulidde Katonda ng'ayogera, ng'asinziira mu muliro, nga mmwe bwe mwawulira, ne basigala nga balamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waabangawo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera nga liva wakati mu muliro, nga ggwe bwe wawulira, ne baba balamu?