Deuteronomy 4:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bino byakwolekebwa, olyoke omanye nti Omukama yennyini ye Katonda, era tewali mulala okuggyako ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo Mukama yabibalaga mmwe, mulyoke mumanye nti ye, ye Katonda yekka, tewali mulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo Mukama yabibalaga mmwe, mulyoke mumanye nti Ye, ye Katonda yekka, tewali mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe walagibwa bw'otyo olyoke omanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala wabula ye.