Deuteronomy 4:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwa kubeera nga yayagala bajjajjaabo, n'alonda ezzadde lyabwe eribaddirira. Yakuggya mu Misiri nga yeeyoleka yennyini era n'amaanyi ge ag'ekitalo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi y’e Misiri ng’akozesa obuyinza bwe obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okwagala bajjajjammwe, ye yennyini yabalondamu mmwe bazzukulu baabwe, n'abaggya mu Misiri n'obuyinza bwe obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okwagala bajjajjammwe, yabalondamu mmwe bazzukulu baabwe, era mu buyinza bwe obungi, Ye yennyini n'abaggya mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga yayagala bajjajja bo, kyeyava alonda ezzadde lyabwe eriddawo, n'akuggya mu Misiri ye ng'abeera naawe olw'obuyinza bwe obungi;