Deuteronomy 4:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Manya nno olwa leero, era okikwate mu mutima gwo, nti Omukama yennyini ye Katonda waggulu eyo mu ggulu, ne wansi mu nsi; teriiyo mulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi; tewali mulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mumanye olwaleero era mukikuume mu mitima gyammwe, nga Mukama ye Katonda mu ggulu ne mu nsi. Tewali mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi: tewali mulala.