Deuteronomy 4:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwata amateeka ge n'ebiragiro bye bye nkuwa olwa leero, olyoke obeerenga bulungi n'abaana bo abalikuddirira, obeere mu nsi ebbanga ggwanvu, ensi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero olyoke olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era owangaale nnyo ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'abaana bammwe abaliddawo, era muwangaalire mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa ebe yammwe ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero, olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era omale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa, emirembe gyonna.