Deuteronomy 4:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abeeranga asse munne gy'anaddukiranga, singa abeera amusse mu butanwa nga tebwali bukyayi mu kusooka. Alisobolanga okuddukira mu bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga mu bibuga ebyo, omuntu yenna anaabanga asse muntu munne nga tagenderedde, mw’anaddukiranga, kubanga munne anaabanga amusse mu butanwa nga tamuliiko kiruyi kubanga tabangako mulabe we; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo yeewonye naye okuttibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omuntu anattanga munne mu butanwa, addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo, awone okuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omuntu mw'ayinza okuddukira n'awona, bw'aba ng'asse munne mu butanwa, ng'abadde tamulinaako bulabe; nga bw'addukira mu kimu ku bibuga ebyo, awonya obulamu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omussi addukirenga omwo, anattanga munne ng'ataniddwa; so nga tamukyawanga; addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo abeerenga omulamu;