Deuteronomy 4:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emitala wa Yorudani mu kiwonvu kya Beti-Pewori, mu nsi ya Sikoni kabaka w'Abaamori eyabeeranga mu Kesuboni, Musa n'Abayisirayeli gwe baakuba bwe baali bava e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bw’omugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi ey’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi eyali eya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baali bava e Misiri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabibaweera mu kiwonvu ekitunuulidde Beti Pewori, ebuvanjuba bwa Yorudaani, mu nsi eyali eya Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni, Musa n'Abayisirayeli gwe baawangula nga bavudde mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi ya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baava mu Misiri: