Deuteronomy 4:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baatwala ensi ye n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani, bakabaka abo ababiri ab'Abaamori abaali emitala ebuvanjuba wa Yorudani,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi eyo baali bagitutte awamu n’ensi ya Ogi kabaka wa Basani, abo nga be bakabaka ababiri abaabanga ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne batuula mu nsi ye, wamu n'ensi ya Ogi eyali kabaka w'e Basani; bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabeeranga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Beefuga ensi ye, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani kabaka omulala ow'Abaamori, era eyabeeranga ebuvanjuba bwa Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne balya ensi ye, n'ensi ya Ogi kabaka We Basani, bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabanga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba;