Deuteronomy 4:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Araba yenna emitala ebuvanjuba wa Yorudani okutuuka ku nnyanja y'e Araba wansi w'enkonko za Pisuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne kitwaliramu Alaba yonna emitala wa Yoludaani, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuukira ddala ku nnyanja Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, wansi w'olusozi Pisuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kitwaliramu ekitundu kyonna eky'ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani, okutuuka ku Nnyanja y'Omunnyo, wansi w'obutunnumba bw'Olusozi Pisuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Alaba yonna emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuusa ku nnyanja ya Alaba, awali entunnumba za Pisuga.