Deuteronomy 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno nabayigiriza amateeka n'ebiragiro, ng'Omukama Katonda wange bwe yandagira, mubituusanga mu nsi gye mugenda okutwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka n’ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, n’okugyefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, mbayigirizza amateeka n'ebiragiro, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mubikwatenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nzuuno mbayigiriza amateeka n'ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira. Mubikwatenga nga muli mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, mbayigirizza amateeka n'emisango, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mukolenga bwe mutyo wakati mu nsi gye muyingiramu okugirya.