Deuteronomy 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubikwatanga butiribiri era mubituusanga. Olwo lwe muliraga mu maaso g'amawanga amagezi gammwe n'okutegeera kwammwe. Bwe baliwulira amateeka ago gonna, balyewuunya nti: ‘Mulabe eggwanga ettutumufu lino, eggezi era eggwanga eritegeera!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugagobererenga n’obwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe n’obutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu b’eggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mubyekuumenga, mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe eri amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti, ‘Mazima eggwanga lino kkulu, be bantu ab'amagezi era abategeera.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubikuumenga era mubituukirizenga, kubanga ekyo kye kinaalaganga abantu ab'amawanga amalala, bwe mulina amagezi n'okutegeera. Bwe banaawuliranga amateeka ago gonna, banaagambanga nti: ‘Ddala eggwanga lino ekkulu, lya bantu abagezi era abategeevu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe mu maaso g'amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab'amagezi era abategeera.