Deuteronomy 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye ggwanga ki eddala ettutumufu, eririna amateeka n'ebiragiro ebituukirivu, ng'amateeka gano ge mbassa mu maaso gammwe leero bwe gali?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna amateeka n’ebiragiro eby’obwenkanya nga bino bye nteeka mu maaso gammwe leero?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'ebiragiro eby'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ggwanga ki eddala ekkulu eririna amateeka n'ebiragiro eby'obwenkanya ng'amateeka gano gonna ge mbateerawo olwaleero?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'emisango egy'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?