Deuteronomy 4:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Weekuume wennyini era wegendereze nnyo oleme kwerabira bintu amaaso go bye galabye, oba n'obireka ne bikuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo. Obiyigirizanga abaana bo ne bazzukulu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kyokka weegendereze, weekuume emmeeme yo, nyiikira oleme okwerabira ebyo byonna amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; era bitegeezenga abaana bo ne bazzukulu bo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula mwegendereze era mwekuume, muleme kwerabira mu bulamu bwammwe bwonna ebyo mmwe mwennyini bye mwalaba. Mutegeeze abaana bammwe ne bazzukulu bammwe
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka weegendereze weekuume emmeeme yo ng'onyiikira, oleme okwerabira ebigambo amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; naye mubitegeezenga abaana bo n'abaana b'abaana bo;