Deuteronomy 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo mu bitaliimu, kubanga Omukama talibala oyo akozesezza erinnya lye mu bitaliimu ng'atalina musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa: kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ ‘Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talirema ku mussaako musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Temuulayirirenga bwereere linnya lyange, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, ndibonereza buli alayirira obwereere erinnya lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talimutowooza nga taliiko musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye.