Deuteronomy 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira nga naawe wali muddu mu Misiri, Omukama Katonda n'akuggyayo n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole. Omukama Katonda wo kyeyava akulagira otukuzenga olunaku lwa Sabbaato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojjukiranga nga wali muweereza mu nsi ey’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyayo n’omukono gwe omuwanvu era ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okuumenga olunaku olwa Ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa Ssabbiiti.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujjukirenga nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, nze Mukama Katonda wammwe ne mbaggyayo, nga nkozesa obuyinza obungi n'amaanyi. Kyenva mbalagira okukuumanga olunaku olw'Okuwummula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa: Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa ssabbiiti.