Deuteronomy 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa, ng'Omukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale era obeere wa mukisa ku nsi, Omukama Katonda wo gy'alikuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira; ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Bakitammwe ne bannyammwe mubassengamu ekitiibwa, nga Nze Mukama Katonda wammwe bwe mbalagira, mulyoke muwangaale era mube bulungi mu nsi gye mbawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi ku nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.