Deuteronomy 5:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Teweegombanga mukazi wa munno; teweegombanga nnyumba ya munno, wadde ennimiro ye, oba omuddu we, oba omuzaana we, oba ente ye, oba endogoyi, na buli kikye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno. ’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Era temuusigulenga baka bannammwe. Temuuyaayaanirenga nnyumba za bantu balala, newaakubadde ennimiro zaabwe, oba abaddu baabwe, oba abazaana baabwe, newaakubadde ente zaabwe, oba endogoyi zaabwe, wadde ekintu ekirala kyonna eky'omuntu omulala.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno.