Deuteronomy 5:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bino ebigambo Omukama bye yalangirira gye muli mu ddoboozi ekkalangufu nga mukuŋŋaanye ku lusozi, ng'ayima mu muliro wakati mu kire ne mu nzikiza ekutte; tewali kye yayongerako. Yabiwandiika ku mpande bbiri ez'amayinja, n'abimpa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi w’olusozi Sinaayi, ng’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka eryava mu muliro, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bw’atyo n’agawandiika ku bipande bibiri eby’amayinja, n’abinkwasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'abimpa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyo bye biragiro Mukama bye yabawa mwenna nga mukuŋŋaanidde ku lusozi. Yabibagamba mu ddoboozi ery'omwanguka ng'asinziira mu muliro wakati ne mu kire, mu kizikiza ekikutte, n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja, n'abimpa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene: n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'agampa: