Deuteronomy 5:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mmwe bwe mwawulira eddoboozi eriva mu nzikiza, n'olusozi nga lwaka omuliro, bakulu bammwe bonna mu bika n'abakadde bajja gye ndi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ng’olusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, n’abakulembeze bonna ab’ebika byammwe, n’abakulu bammwe bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera awamu n'abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale bwe mwawulira eddoboozi eriva mu kizikiza, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera mmwe n'abakulembeze bammwe, n'abakulu b'ebika byammwe bonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera, abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe;