Deuteronomy 5:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mugamba nti: ‘Omukama Katonda waffe atulaze obukulu bwe n'ekitiibwa kye, n'eddoboozi lye tuliwulidde mu makkati g'omuliro. Tukakasizza olwa leero nti Katonda asobola okwogera n'omuntu, omuntu n'alama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mwogera nti, ‘Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro wakati. Leero tulabye nga kisoboka Katonda okwogera n'omuntu n'asigala nga mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mugamba nti: ‘Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe. Tuwulidde eddoboozi lye eriva mu muliro wakati. Olwaleero tulabye nga Katonda ayogera n'omuntu, omuntu n'asigala nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mwogera nti Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro: wakati: tulabye leero nga Katonda ayogera n'omuntu n'aba mulamu: