Deuteronomy 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati tufiira ki? Omuliro guno omungi gujja kutumalawo tufe bwe tunaayongera okuwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza; bwe tunaddamu nate okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe tujja kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano tufiira ki? Omuliro guno omungi gujja kutusaanyaawo! Bwe tunaddamu okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tujja kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano twandifiiridde ki? kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza: bwe tunaawulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tunaafa.