Deuteronomy 5:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu waawa eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu, ayogera ng'ayima mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'alama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ng’ayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala ng’akyali mulamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani mu bantu bonna, eyali awulidde eddoboozi lya Katonda Nnannyinibulamu, ng'ayogerera mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, omuntu oyo n'asigala nga mulamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu?