Deuteronomy 5:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama yawulira bye mwali muŋŋamba, n'agamba nti: ‘Mpulidde abantu bano kye bakugamba; mu byonna bayogedde bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yawulira ebigambo byammwe, bwe mwayogera nange, Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebigambo abantu abo bye bakugambye mbiwulidde. Byonna bye boogedde bibadde birungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'awulira ebigambo bye mwayogera nange, n'aŋŋamba nti, ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye boogedde birungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama n'awulira ebigambo bye mwayogera nange, n'aŋŋamba nti: ‘Mpulidde ebigambo abantu bano bye bakugambye. Byonna bye boogedde birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe bwe mwayogera nange; Mukama n'aŋŋamba nti Mpulidde eddoboozi ly'ebigambo by'abantu bano, bye bakubuulidde: boogedde bulungi byonna bye bagambye.