Deuteronomy 5:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa nno bafuna omutima oguntya ne bakwatanga ebiragiro byange byonna bulijjo, balyoke babeere bulungi, bo n'abaana baabwe emirembe gyonna!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa nno bulijjo emitima gyabwe gibeera bwe gityo; ne bantya, era ne bagonderanga amateeka gange gonna, ne balyoka balaba ebirungi awamu n’abaana baabwe emirembe gyonna!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezadde lyabwe; bandibadde bulungi ennaku zonna!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, ne bakuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezzadde lyabwe bandibaddenga bulungi ennaku zonna!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa mulimu omutima mu bo ogufaanana bwe guti n'okutya bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabe ebirungi n'abaana baabwe emirembe gyonna