Deuteronomy 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endagaano teyagikola na bajjajjaffe, wabula naffe abalamu abaliwo kaakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endagaano eyo Mukama Katonda teyagikola ne bazadde baffe, naye yagikola naffe abali wano era abalamu ku lunaku lwa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama teyalagaana ndagaano eyo na bajjajjaffe bokka, naye era naffe ffenna abalamu abali wano leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endagaano eyo teyagikola na bajjajjaffe bokka, wabula yagikola naffe ffenna abali wano, kati abalamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama teyalagaana ndagaano eyo ne bajjajja baffe, naye naffe ffe, abali wano fenna nga balamu leero.