Deuteronomy 5:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno mukwatenga Omukama Katonda wammwe bye yabalagira, mubituusenga, temuwunjukanga kudda ku ddyo oba ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bw’abalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mwegenderezenga okukolanga nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira, temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mwegenderezenga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira, awatali kuwunjawunja kudda ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale munaakwatanga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira: temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.