Deuteronomy 5:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutambulirenga mu ebyo Omukama Katonda wammwe bye yabalagira, lwe munaalama, ne muba bulungi, ne muwangaala mu nsi gye mugenda okutwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutambulirenga mu kkubo Mukama Katonda wammwe ly’abalagidde, mulyoke mubenga balamu, mugaggawale, era muwangaalenga nga muli mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutambulirenga mu kkubo lyokka Mukama Katonda wammwe ly'abalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mugenda okutuulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukolerenga ku ebyo byonna Mukama Katonda wammwe bye yabalagira, mulyoke mubenga bulungi, era muwangaalire mu nsi, gye mulyefuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munaatambuliranga mu kkubo lyonna Mukama Katonda wammwe lye yabalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era mumale ennaku nnyingi mu nsi gye mulirya.