Deuteronomy 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yayogera nammwe ku lusozi maaso ku maaso ng'ayima mu makkati g'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda yayogera nammwe nga mwolekaganye naye, ye ng’asinziira mu muliro ku lusozi olunene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yayogera nammwe ng'asinziira ku lusozi, wakati mu muliro nga mulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo ku Lusozi, Mukama yayogera nammwe nga mulabagana maaso na maaso, ng'asinziira mu muliro wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Yayogera nammwe nga mulabagana n'amaaso ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro,