Deuteronomy 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teweekoleranga kifaananyi kyole mu nfaanana y'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, oba ekiri ku nsi wansi, oba mu mazzi ku ntobo y'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ ‘Teweekoleranga kifaananyi kyole, eky'ekintu kyonna ekiri mu waggulu mu ggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Temwekolerenga kifaananyi kya kintu na kimu eky'omu ggulu, oba eky'oku nsi, oba eky'omu mazzi wansi mu ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teweekoleranga kifaananyi kyole, ekifaananyi ky'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka: