Deuteronomy 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tobivunnamiranga era tobiweerezanga. Kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda ow'obuggya, mbonereza omusango gw'abazadde mu baana n'abazzukulu okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna ery'abo abankyawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baana obubi bwa bajjajjaabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuuvuunamirenga bifaananyi ebyo, era temuubisinzenga, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, sivuganyizibwa. Mbonereza abazzukulu bannakabirye ne bannakasatwe olw'ebibi bya bajjajjaabwe abankyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baaaa obubi bwa bajjajja baabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa;