Deuteronomy 6:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda wo bw'akuyingizanga mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo, nti aligikuwa, ensi ey'ebibuga ebinene, ebirungi by'otaazimba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa omuli ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda wammwe bw'alibatuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, alibawa mmwe ebibuga ebinene era ebirungi bye mutaazimba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,