Deuteronomy 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otyanga Omukama Katonda wo, era yekka gw'oweerezanga, mu linnya lye mw'olayiriranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otyanga Mukama Katonda wo; oyo gw'onooweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mussengamu ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, mumusinzenga, era erinnya lye, lye muba mulayiranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.