Deuteronomy 6:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda wo, oyo Katonda ali mu makkati gammwe, wa buggya, era obusungu bwe bulikwesererako akusangulewo ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama Katonda wo, Katonda wa buggya, obusungu bwe buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza, n'akusaanyaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mulisinza balubaale, obusungu bwa Mukama bulibatumbukirako mmwe ng'omuliro, ne bubasaanyaawo, kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ali nammwe, wa buggya, tavuganyizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wammwe ye Katonda ow'obuggya; obusungu bwa Mukama Katonda wo buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza okukuggya ku maaso g'ensi.