Deuteronomy 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gye bujja omwana wo bw'akubuuzanga nti: ‘Bino enjigiriza, amateeka n'ebiragiro Omukama Katonda waffe bye yabalagira bitegeeza ki?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti, ‘Ebyo Mukama Katonda waffe bye yabalaga, n'amateeka n'ebiragiro bitegeeza ki?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gye bujja, abaana bammwe balibabuuza mmwe nti: ‘Amateeka n'ebiragiro n'ebibuuliriro Mukama Katonda waffe bye yabateerawo, bitegeeza ki?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti Ebyo bye yategeeza, n'amateeka, n’emisango Mukama Katonda waffe bye yabalagira; amakulu gaabyo ki?