Deuteronomy 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuddangamu nti: ‘Twali baddu ba Faraawo mu nsi y'e Misiri, Omukama n'atuggyayo mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olyoka ogamba omwana wo nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n'atuggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana bammwe abo bamubaddangamu nti: ‘Twali baddu ba kabaka w'e Misiri, Mukama n'atuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olyoka ogamba omwana wo, nti Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n’atuggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi: