Deuteronomy 6:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akola obubonero obwewuunyisa n'ebikuuno, ebinene ate eby'entiisa mu Misiri ng'abikola ku Faraawo n'ennyumba ye yonna mu maaso gaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Mukama n'akola obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, nga tulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twerabirako n'amaaso gaffe ebyewuunyo n'ebyamagero eby'amaanyi era eby'entiisa Mukama bye yakola ku Misiri ne ku kabaka waayo, ne ku b'ennyumba ya kabaka oyo bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Mukama n’alaga obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, mu maaso gaffe: