Deuteronomy 6:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'atulagira tukwatenga amateeka gano gonna, tutye Omukama Katonda waffe, tulyoke tubeere bulungi, era atukuume nga tuli balamu, nga bwe tuli kaakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama n'atulagira okukwatanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda waffe n'atulagira okutuukirizanga amateeka ago gonna, n'okumussangamu ekitiibwa, tulyoke tubeerenga bulungi bulijjo, era atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama n'atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero.