Deuteronomy 6:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutuukirivu bwaffe buliba mu kino: bwe tulikwata ne tutuusa ebiragiro bino byonna mu maaso g'Omukama Katonda waffe nga ye bwe yatulagira.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kinaabanga kirungi gyetuli, okwegenderezanga n'okukolanga byonna Mukama Katonda waffe bye yatulagira, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye tusaanidde okukola, kwe kwegendereza tutuukirizenga byonna Mukama Katonda waffe bye yatulagira.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe nga bwe yatulagira.