Deuteronomy 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira, Yisirayeli, wekkaanye obituusenga, olyoke obeere bulungi, oyale nnyo mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, ng'Omukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale wulira, ggwe Isiraeri, bw'otuukanga mu nsi Mukama Katonda wo gye yasuubiza bajjajjaabo, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, okwatanga ebyo byonna bye yakulagira olyoke olabenga ebirungi era olyoke oyale nnyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Abayisirayeli muwulire, mwegendereze okubituukirizanga, mulyoke mubeerenga bulungi, mweyongere nnyo obungi, mubeerenga mu nsi engimu era engagga, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabasuubiza mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale wulira, ggwe Isiraeri, okwatenga okukola kutyo; olabenga ebirungi, era mwale nnyo, nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakusuubiza, mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.