Deuteronomy 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo yennyini amukyawa amuzikiriza, talonzalonza kusasula oyo yennyini amukyawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa; tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asasula abo abamukyawa n'ababonereza ng'abazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abamukyawa alibeesasuza ng'abazikiriza. Talironzalonza kubonereza buli muntu amukyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
asasula abo abamukyawa ng'alabagana n'amaaso, okubazikiriza: taddirirenga eri oyo amukyawa, naye anaamusasulanga ng'alabagana n'amaaso.