Deuteronomy 7:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Amateeka gano bwe muligawulira, ne mugakwatanga, ne mugatuusa, n'Omukama Katonda wo alikukuumira endagaano n'ekisa bye yalayirira bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga n’obwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo ey’okwagala kwe okutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munassangayo omwoyo ku biragiro bino ne mubikwata era ne mubikola, Mukama Katonda wammwe anaatuukirizanga endagaano ye n'okusaasira bye yalayirira bajjajjammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munassangayo omwoyo ku biragiro bino ne mubikwata era ne mubituukiriza, Mukama Katonda wammwe anaakuumanga endagaano gye yakola nammwe, era anaabakwatirwanga ekisa nga bwe yalayirira bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka kubanga muwulira emisango gino; ne mugikwata, ne mugikola; Mukama Katonda wo anaakukwatiranga endagaano n'okusaasira bye yalayirira bajjajja bo: