Deuteronomy 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Agenda kukwagala akuwe omukisa, akuwe okwala. Aliwa omukisa ezzadde ly'olubuto lwo n'ebibala by'ettaka lyo: eŋŋano, evviini ensu, n'omuzigo; aliwa omukisa obuyana bw'ente zo n'obuliga bw'omu kisibo kyo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era anaakwagalanga, anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: anaawanga omukisa ennimiro zammwe ne mufuna eŋŋaano, envinnyo, n'amafuta ag'emizeyituuni. Anaayazanga amagana go ag'ente, ag'embuzi n'agendiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaabaagalanga mmwe, n'abawa omukisa, ne mweyongera okwala. Anaawanga abaana bammwe omukisa. Anaagimusanga ettaka lyammwe, ne mufuna omwenge ogw'emizabbibu n'omuzigo ogw'emizayiti. Anaayazanga ente zammwe n'amagana gammwe ag'embuzi n'endiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.