Deuteronomy 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oliweebwa omukisa mu mawanga gonna. Mu ggwe temuliba musajja atalina mwana na mukazi mugumba, ne mu bisolo byo temuliba kitazaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muliweebwa omukisa okusinga amawanga amalala gonna. Mu mmwe temuubeenga musajja oba mukazi mugumba, wadde ekisolo ekitazaala mu magana gammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muliweebwa omukisa okusinga amawanga amalala gonna. Mu mmwe temuubenga musajja oba mukazi mugumba, wadde ekisolo ekitazaala mu magana gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onoobanga n'omukisa okusinga amawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakubadde mu bisibo byo.